Daniel 2:42 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ng'obugere bwe bwali, ng'ekitundu kya kyuma n'ekitundu kya bbumba, n'obwakabaka obwo bwe buliba bwe butyo, ekitundu bwa maanyi, n'ekitundu nga bunafu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obugere, ng'ekitundu bwa kyuma, ate ekitundu nga bwa bbumba, butegeeza nti obwakabaka obwo nabwo bwe buliba bwe butyo: ng'ekitundu bwa maanyi, ate ekitundu nga bunafu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ng'obugere bwe bwali ekitundu kya kyuma, n'ekitundu kya bbumba, era n'obwakabaka bwe buliba bwe butyo, ekitundu kya maanyi, n'ekitundu kimenyefu.