Daniel 2:43 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era walaba ekyuma nga kitabuddwa ne ebbumba, n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era walaba ekyuma nga kitabuddwa n'ebbumba. Bwe batyo n'abafuzi b'obwakabaka obwo, baligezaako okwegattira mu kufumbiriganwa, naye tebalisobola, ng'ekyuma bwe kitasobola kwetabula na bbumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba ery'ettosi, balyetabula n'ezzadde ly'abantu: naye tebaligattagana bokka na bokka, era ng'ekyuma bwe kiteetabula na bbumba.