Daniel 2:44 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so tebulifugibwako ggwanga ddala lyonna, naye bulimenyaamenya ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, ne bubeerawo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mirembe gy'abafuzi abo, Katonda ow'omu ggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa emirembe gyonna. Tebuliwangulwa bantu balala, naye bulimenyaamenya, ne buzikiriza obwakabaka obulala bwonna, bwo ne bubeerawo ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow'eggulu alissaawo obwakabaka, obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n'okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.