Daniel 2:45 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. “Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu akutegeezeza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Walaba ejjinja nga bwe lyamogoka lyokka ku lusozi nga tewali alikutteko, era nga bwe lyamenyaamenya ekyuma n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu. Katonda akumanyisizza ebiribaawo gye bujja. Ekirooto kye kyo kikakafu, n'amakulu gaakyo geego, tegabuusibwabuusibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga walaba ejjinja nga lyatemebwa mu lusozi awatali ngalo, era nga lyamenyaamenya ekyuma, n'ekikomo, n'ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu: Katonda omukulu ategeezezza kabaka ebiribaawo oluvannyuma: era ekirooto kya mazima ddala, n'amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.