Daniel 2:47 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wammwe, ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'agamba Daniyeli nti: “Lubaale wammwe ye Lubaale akulira balubaale, era ye mukama wa bakabaka, era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga osobodde okubikkula ekyama ekyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'addamu Danyeri n'ayogera nti Mazima Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama wa bakabaka; era ye mubikkuzi w'ebyama, kubanga oyinzizza okubikkula ekyama ekyo.