Daniel 2:48 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babbulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'alyoka afuula Daniyeli omukulu, n'amuwa ebirabo bingi nnyo, n'amuwa n'okufuga ekitundu kyonna eky'e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'alyoka afuula Danyeri omukulu, n'amuwa ebirabo bingi ebinene, n'amuwa okufuga essaza lyonna ery'e Babulooni, era okuba omwami omukulu ow'abagezigezi bonna ab'e Babulooni.