Daniel 2:5 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'abaddamu nti, “kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'abaddamu nti: “Mmaliridde nti bwe mutantegeeze kye naloose era n'amakulu gaakyo, mujja kutemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zifuulibwe matongo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'addamu n'agamba Abakaludaaya nti Ekigambo kinvuddeko: bwe mutantegeeze ekirooto n'amakulu gaakyo, munaatemebwatemebwa, n'ennyumba zammwe zirifuuka mmungo.