Daniel 2:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe munaantegeeza ekirooto n'amakulu gaakyo, nnaabawa birabo n'empeera n'ekitiibwa ekinene. Kale muntegeeze kye nnaloota n'amakulu gaakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe munambuulira kye naloose, era n'amakulu gaakyo, nja kubawa ebirabo n'empeera, era mbafuule baakitiibwa nnyo. Kale mumbuulire kye naloose, era n'amakulu gaakyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe munaalaga ekirooto n'amakulu gaakyo, munaaweebwa nze ebirabo n'empeera n'ekitiibwa kingi: kale mundage ekirooto n'amakulu gaakyo.