Daniel 2:9 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mutantegeeze kirooto, nja kubabonereza mwenna wamu bwe mutambulire kye nnaloota; mwekobaanye okunnimba n'okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okubabonereza mwenna awamu, bwe mutambuulire kye naloose. Mwekobaanye okulimba n'okwogera ebitali bituufu mu maaso gange, nga musuubira nti ebintu bijja kukyuka ng'ekiseera kiyiseewo. Kale mumbuulire kye naloose, ndyoke ntegeere nga muyinza n'okuntegeeza amakulu gaakyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mutantegeeze ekirooto, waliwo etteeka limu gye muli: kubanga muteeseteese okulimba n'ebigambo ebivundu okwogera mu maaso gange okutuusa ebiro lwe biriwaanyisibwa: kale mumbuulire ekirooto, nange ndyoke ntegeere nga muyinza okundaga amakulu gaakyo.