Daniel 3:1 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Nebukadduneeza n’abumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu n’obugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, n’alagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ly’e Babulooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Nebukadduneeza yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga (60), n'obugazi bwakyo emikono mukaaga, n'akiyimiriza mu lusenyi lw'e Dduula, mu ssaza lye Babbulooni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Nebukadunezzari n'aweesa ekifaananyi ekya zaabu, mita amakumi abiri mu musanvu obugulumivu, ne mita kumpi ssatu obugazi, n'akiteeka mu lusenyi lw'e Duura, mu kitundu ky'e Babilooni.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduneeza kabaka yakola ekifaananyi ekya zaabu, obuwanvu bwakyo emikono nkaaga, n'obugazi bwakyo emikono mukaaga: n'akiyimiriza mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ery'e Babulooni.