Daniel 3:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe, wateeka etteeka, Ayi kabaka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe wateeka etteeka, ayi Ssaabasajja, nti buli anaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu;
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, ai kabaka, wateeka etteeka, nti buli anaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, anaavuunama n'asinza ekifaananyi ekya zaabu: