Daniel 3:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu kufuga essaza lye Babbulooni: Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Abasajja abo, Ayi kabaka, bakunyooma, tebaweereza bakatonda bo, era tebavuunama kusinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Waliwo Abayudaaya abamu be wateekawo okulabirira ekitundu ky'e Babilooni, amannya gaabwe Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Abasajja abo, ayi Ssaabasajja, bakunyooma. Tebasinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Waliwo Abayudaaya abamu be wakuza mu bigambo eby'essaza ery'e Babulooni, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego: abasajja abo, ai kabaka, tebakulowoozezza: tebaweereza bakatonda bo, so tebasinza kifaananyi kya zaabu kye wayimiriza.