Daniel 3:13 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo n’alagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gy’ali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nebukadunezzari n'akwatibwa obusungu n'ekiruyi, n'alagira baleete Saduraki, Mesaki, ne Abedinego. Ne babaleeta mu maaso ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebukadduneeza n'alyoka asunguwala ne yeejuumuula n'alagira okuleeta Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego. Awo ne baleeta abasajja abo mu maaso ga kabaka.