Daniel 3:14 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebukadduneeza n’ababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nebukadduneeza n'ababuuza nti, “Mmwe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, ddala kituufu, mugaanyi okuweereza katonda wange, n'okuvuunama okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nnayimiriza?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ababuuza nti: “Mmwe, Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ddala kituufu mugaanye okusinza lubaale wange, n'okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye nateekawo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduneeza n'addamu n'abagamba nti Mmwe Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mukigenderedde bugenderezi obutaweereza katonda wange, n'obutasinza kifaananyi kya zaabu kye nnayimiriza.