Daniel 3:15 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, mwetegeke okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno kaakano, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'erya buli kivuga ekirala kyonna, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nnakola, kinaaba kirungi, naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne muvuunama ne musinza ekifaananyi kye nakola, kinaaba kirungi. Naye bwe munaagaana okusinza, amangwago mujja kusuulibwa mu kabiga k'omuliro ogubugujja. Era Lubaale ki oyo anaabawonya, n'abaggya mu buyinza bwange?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, bwe munakkiriza nga muwulidde eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, okuvuunama n'okusinza ekifaananyi kye nnakola, kale: naye bwe mutaasinze, mu kiseera ekyo munaasuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era katonda aluwa oyo anaabawonya mu mikono gyange?