Daniel 3:17 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe kinaaba bwe kityo, Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, Ayi kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kunaaba kusuulibwa mu muliro, Katonda waffe gwe tusinza, asobola bulungi okutuggya mu kabiga k'omuliro ogubugujja, n'okutuwonya n'atuggya mu buyinza bwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe kinaaba bwe kityo; Katonda waffe gwe tuweereza ayinza okutuwonya mu kikoomi ekyaka n'omuliro: era anaatuwonya mu mukono gwo, ai kabaka.