Daniel 3:18 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, Ayi kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne bw'anaaba tatuwonyezza, manya, ayi Ssaabasajja, nga tetujja kusinza balubaale bo, wadde okuvuunamira ekifaananyi ekya zaabu kye wateekawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe kitaabe bwe kityo, tegeera, ai kabaka, nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wayimiriza.