Daniel 3:2 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Nebukadduneeza n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, abalamuzi, abawanika, abawi ba magezi, bannamateeka, n'abakulu bonna abo mu masaza, bajje babeerewo nga ekifaananyi kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza kiwongebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nebukadunezzari kabaka n'alagira okukuŋŋaanya abakungu be bonna: ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abawi b'amagezi, ne bannamateeka, n'abakulu bonna aba buli kitundu, babeerewo mu kuwonga ekifaananyi ekyo, Kabaka Nebukadunezzari kye yateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebukadduneeza kabaka n'atuma okukuŋŋaanya abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga, n'abalamuzi, n'abawanika, n'abakungu, n'ab'amateeka, n'abakulu bonna ab'omu masaza, bajje eri ekifaananyi Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza bwe kiriwongebwa.