Daniel 3:22 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kubanga kabaka yali alagidde okukumira ddala ekikoomi kyake nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula mu kikoomi Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kubanga kabaka yali alagidde okukuma akabiga k'omuliro kabugujje nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaasuula Saduraki, Mesaki, ne Abedinego mu kabiga ako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kubanga kabaka yabakuutirira ddala, n'ekikoomi nga kyase nnyo, ennimi z'omuliro ne zitta abasajja abo abaakwata Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.