Daniel 3:24 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?” Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa okusituka, n'abuuza abakungu be nti, “Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro?” Ne baddamu kabaka nti, “Mazima, bwe kiri, Ayi kabaka.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nebukadunezzari n'asamaalirira, n'asituka mangu, n'abuuza abakungu be nti: “Tetwasibye abasajja basatu ne tubasuula wakati mu kabiga k'omuliro?” Ne bamuddamu nti: “Bwe kiri, ayi Ssaabasajja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nebukadduneeza kabaka n'alyoka yeewuunya, n'ayanguwa n'agolokoka: n'ayogera n'agamba abakungu be nti Tetusudde basajja basatu nga basibiddwa wakati mu muliro? Ne baddamu ne bagamba kabaka nti Mazima, ai kabaka.