Daniel 3:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Nze nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi! n'owookuna aliŋŋaanga omwana wa bakatonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Ate nga ndaba abasajja bana, nga basumuluddwa, batambulira mu muliro wakati, nga tebaliiko kabi! N'owookuna afaanana ng'omu ku balubaale.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'addamu n'ayogera nti Laba, nze ndaba abasajja bana nga basumuluddwa, nga batambulira wakati mu muliro, so nga tebaliiko kabi: n'okufaanana kw'ow'okuna kuliŋŋanga omwana wa bakatonda.