Daniel 3:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaamasaza, n'abamyuka baabwe, abafuga, n'abawi ba magezi, bonna ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziyidde era nga n'olusu lw'omuliro terubawunyako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'amasaza, n'abamyuka baabwe, n'ab'amagombolola, n'abakungu ba kabaka abalala bonna, ne bakuŋŋaana, ne balaba abasajja abo, omuliro be gutaakolako kabi. Enviiri zaabwe tezaayokebwako, engoye zaabwe tezaggya, era nga tebawunya bbabe lya muliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaamasaza, n'abamyuka, n'abafuga; n'abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne balaba abasajja abo, ng'omuliro teguyinzizza mibiri gyabwe, so n'enviiri ez'oku mitwe gyabwe nga tezisiridde, so n'engoye zaabwe nga teziwaanyisibbwa, so n'olusu lw'omuliro nga terubabaddeeko.