Daniel 3:28 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nebukadduneeza n'agamba nti, “Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaakanya ekigambo kyange nze kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe mu kabi, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, okuggyako Katonda waabwe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nebukadunezzari n'agamba nti: “Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, atenderezebwe. Atumye malayika we n'awonya abaweereza be bano abamwesize, ne bawakanya ekiragiro kyange nze kabaka, ne bateeka obulamu bwabwe mu kabi, baleme okusinza wadde okuvuunamira lubaale omulala yenna okuggyako Lubaale owaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduneeza n'ayogera nti Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be abamwesize ne bawaanyisa ekigambo kya kabaka, ne bawaayo emibiri gyabwe, baleme okuweereza newakubadde okusinza katonda yenna, wabula Katonda waabwe bo.