Daniel 3:29 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano, kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, balitemebwatemebwa n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano nteeka etteeka nti abantu aba buli kika, n'aba buli ggwanga, n'aba buli lulimi, abanaayogeranga obubi ku Lubaale wa Saduraki, Mesaki, ne Abedinego, ba kutemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zifuulibwe matongo, kubanga tewali lubaale mulala ayinza kuwonya mu ngeri eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyenva nteeka etteeka, nga buli bantu, n'eggwanga, n'olulimi, abanaayogeranga obubi bwonna ku Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abedunego, balitemebwatemebwa, n'ennyumba zaabwe zirifuulibwa olubungo: kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.