Daniel 3:5 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ery'e bivuga ebirala byonna ebya buli ngeri, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe munaawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, munaavuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka ky'ataddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe munaawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ekkondeere, na buli ngeri yonna evuga, ne mulyoka muvuunama ne musinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza: