Daniel 3:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli anaagaana okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo, ajja kusuulibwa mangwago mu kabiga k'omuliro ogubugujja.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era buli anaalema okuvuunama n'okusinza mu kiseera ekyo alisuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka n'omuliro.