Daniel 3:7 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna, n'abamawanga bonna, n'ab'ennimi zonna, bwe baawulira eddoboozi ly'engombe, n'endere, n'ennanga, n'amadinda, n'ekidongo, n'ery'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Kabaka Nebukadduneeza kye yayimiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna bwe baawulira eddoboozi ly'eŋŋombe, n'endere, n'ennanga, n'endingidi, n'ekidongo, n'ekkondeere, n'ebivuga ebirala ebya buli ngeri, ne bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu, Nebukadunezzari kabaka kye yateekawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna bwe baawulira eddoboozi ly'akagombe, n'endere, n'ennanga; n'amadinda, n'ekidongo, na buli ngeri yonna evuga, abantu bonna amawanga, n'ennimi, ne balyoka bavuunama ne basinza ekifaananyi ekya zaabu Nebukadduneeza kabaka kye yayimiriza.