Daniel 4:1 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Nebukadduneeza n’alangirira eri abantu, n’amawanga n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, mu nsi yonna bw’ati nti: Emirembe gibeere nammwe!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Nebukadduneeza n'awandiikira abantu bonna, ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi zonna nti, Emirembe gyeyongere gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buno bwe bubaka Nebukadunezzari kabaka bwe yaweereza abantu ab'ebika byonna, n'ab'amawanga gonna, n'ab'ennimi zonna, abali mu nsi yonna nti: “Emirembe gyeyongere okwala mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nebukadduleeza kabaka nze mbawandiikidde abantu bonna, amawanga, n'ennimi, abatuula mu nsi zonna: emirembe gyeyongere gye muli.