Daniel 4:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuno kwe kwolesebwa kwe nafunye nga ngalamidde ku kitanda kyange; nalabye omuti wakati mu nsi, nga muwanvu nnyo nnyini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: nnatunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga muwanvu nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebyanzijira mu mutwe gwange nga ndi ku kitanda kyange, byali bwe biti: natunula, ne ndaba omuti mu makkati g'ensi, nga mugulumivu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutwe gwange bye gwayolesebwa ku kitanda kyange byali bwe biti: natunula, era, laba, omuti wakati mu nsi, n'obuwanvu bwagwo bunene.