Daniel 4:12 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebikoola byagwo byali birungi okutunulako, n’ebibala byagwo nga bingi, era nga gulina emmere emala bonna. Ensolo enkambwe ez’omu nsiko zaatuulanga mu kisiikirize kyagwo, n’ennyonyi ez’omu bbanga zaatuulanga ku matabi gaagwo, na buli kiramu kyonna kyalisibwanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gwalina ebikoola birungi, nga n'ebibala byagwo bingi, nga bimala okuliisa ensi yonna. Ensolo ez'omu nsiko zeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinnyonyi eby'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne bigulyangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gwalina ebikoola birungi, n'ebibala bingi, ebimala okuliisa ensi yonna. Ebisolo byeggamanga mu kisiikirize kyagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo. Era ebiramu byonna ebirina omubiri, ne biryanga ku muti ogwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo nwalimu emmere emala bonna: ensolo ez'omu nsiko zeggamanga nu kisiikirize kyagwo, n'ennyonyi z'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo, ne byonna ebirina emibiri ne bigulyangako.