Daniel 4:14 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, ‘Tema omuti, otemeko n’amatabi gaagwo; okunkumule amalagala gaagwo, osaasaanye n’ebibala byagwo, n’ennyonyi zibuuke zive ku matabi gaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti,‘Temera ddala omuti, ogutemeko amatabi gaagwo, ogukunkumuleko ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ensolo zive wansi waagwo, n'ebinnyonyi bive mu matabi gaagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayogera n'eddoboozi ery'omwanguka nti: ‘Temawo omuti ogwo, ogusonjoleko amatabi, okunkumule ebikoola byagwo, osaasaanye ebibala byagwo. Goba ebisolo bive wansi waagwo, n'ebinyonyi bive mu matabi gaagwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogerera waggulu, n'agamba bw'ati nti Temera ddala omuti, ogutemeko amaabi gaagwo, ogukunkumuleko amaagala gaagwo, osaasaanye ebibala byagwo: ensolo zive wansi waagwo, n’ennyonyi ku matabi gaagwo.