Daniel 4:15 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n’ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. “ ‘Muleke abisiwale n’omusulo ogw’omu ggulu, era muleke agabanire wamu omuddo, n’ensolo ez’omu nsiko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Leka omuntu oyo, omusulo ogw'omu ggulu gumutobye, era muleke agabanire wamu omuddo n'ensolo ez'omu nsiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye leka ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kireke mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo mu muddo ogw'ensi: