Daniel 4:17 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omusango ogwo gulangiriddwa ababaka, abatukuvu be baasanguza ekisaliddwawo, abalamu balyoke bategeere ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abuwa buli gw’asiima, era alonda abantu abasemberayo ddala okuba aba wansi okubafuga.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusango ogwo gusaliddwawo ng'ekiragiro eky'abakuumi abatukuvu, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afuga obwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eryo lye tteeka abakuumi abatukuvu lye bataddewo, era ekyo kye basazeewo, abantu bonna balyoke bategeere ng'Oyo Atenkanika ye afuga obwakabaka bw'abantu, era nga ye abuwa gw'ayagala, era ng'ayinza n'okubuwa oyo asingayo okuba omunafu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusango ogwo guvudde mu tteeka ery'abatunuzi, n'okuteesa okwo kuvudde mu kigambo eky'abatukuvu: abalamu balyoke bategeere ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa buli gw'ayagala, era ng'akuza ku bwo asinga abantu bonna obunaku.