Daniel 4:19 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.” Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Danyeri era ye Berutesazza, n'amala akabanga ng'asobeddwa, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Berutesazza n'addamu n'agamba nti, Mukama wange, ekirooto kibe ku abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo ku abalabe bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Daniyeli era ayitibwa Belutesazzari, n'amala akabanga ng'asobeddwa, nga yeeraliikirira olw'ebyo by'alowooza. Kabaka n'amugamba nti: “Belutesazzari, ekirooto n'amakulu gaakyo bireme kukweraliikiriza.” Belutesazzari n'addamu nti: “Mukama wange kyandibadde kirungi, ekirooto ekyo kibe ku bakukyawa, n'amakulu gaakyo gabe ku balabe bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Danyeri, erinnya lye Berutesazza, n'alyoka yeewuunya akaseera, n'ebirowoozo bye ne bimweraliikiriza. Kabaka n'addamu n'ayogera nti Berutesazza, ekirooto kireme okukweraliikiriza newakubadde amakulu. Berutesazza n'addamu n'agamba nti Mukama wange, ekirooto kibe eri abo abakukyawa, n'amakulu gaakyo eri abalabe bo.