Daniel 4:20 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuti gwe walaba, ogwakula ne guba gwa maanyi, ogwawanvuwa ne gutuuka ku ggulu, nga gulabibwa ensi yonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuti gwe walabye ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuti gwe walabye, ogwakuze ne guba ogw'amaanyi, nga mugulumivu okutuuka waggulu mu bire, nga gusobola okulengerwa abali wonna ku nsi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuti gwe walabye, ogwameze ne guba gwa maanyi, obuwanvu bwagwo ne butuuka mu ggulu, n'okulengerwa kwagwo mu nsi zonna: