Daniel 4:21 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ogwaliko amalagala amalungi n’ebibala byagwo nga bingi nnyo, era nga guliko n’emmere emala bonna, nga n’ensolo ez’omu nsiko zituula mu kisiikirize kyagwo, nga n’ennyonyi ez’omu bbanga zisiisira ku matabi gaagwo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu bbanga ne bisula mu matabi gaagwo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebikoola byagwo nga birungi, n'ebibala byagwo nga bingi, ebisobola okuliisa ensi yonna, ebisolo ne bibeera wansi waagwo, n'ebinyonyi ne bisula mu matabi gaagwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amalagala gaagwo malungi, n'ebibala byagwo bingi, era mu gwo mulimu emmere emala bonna: n'ensolo ez'omu nsiko ne zibeera wansi waagwo, n'ennyonyi ez'omu ggulu ne zituula ku matabi gaagwo,