Daniel 4:22 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ye ggwe, ayi kabaka! Okuze n’oba mukulu era n’oba w’amaanyi; n’obukulu bwo bweyongedde ne butuuka ku ggulu, n’obuyinza bwo butuuse ku nkomerero y’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ye ggwe, Ayi kabaka, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka mu ggulu, n'obuyinza bwo bubunye mu nsi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
omuti ogwo ye ggwe, ayi Ssaabasajja, akuze n'oba wa maanyi, ekitiibwa kyo ne kyeyongera ne kituuka ku ggulu, n'obuyinza bwo ne bubuna mu nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ye ggwe, ai kabaka, akuze n'oba wa maanyi: kubanga obukulu bwo bukuze, ne butuuka mu ggulu, n'okufuga kwo ku nkomerero y'ensi zonna.