Daniel 4:23 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe ayi kabaka walabye omubaka, era omutukuvu ng’akka okuva mu ggulu, n’ayogera nti, ‘Tema omuti oguzikirize, naye ekikonge ky’ekikolo kyagwo kireke mu ttaka ng’okisibye n’ekyuma n’ekikomo mu muddo omuto ogw’oku ttale; era muleke abisiwazibwe omusulo ogw’omu ggulu, n’omugabo gwe gubeere n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, emyaka musanvu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ggwe kabaka walabye omukuumi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, n'agamba nti, “Temera ddala omuti, oguzikirize, naye leka ekikonge ky'ekikolo kyagwo mu ttaka, nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omuto ku ttale. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo gumutobye, era agabane omuddo n'ensolo ez'omu nsiko, okumala emyaka musanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bwe watunudde, walabye omukuumi omutukuvu ng'akka, ng'ava mu ggulu, n'agamba nti: ‘Temawo omuti oguzikirize, naye oleke ekikolo n'emirandira gyakyo mu ttaka, nga kisibiddwako olujegere olw'ekyuma n'ekikomo, mu muddo omuto. Era leka omusulo gugwe ku muntu oyo, era abeerenga wamu n'ebisolo mu ttale, okumala emyaka musanvu.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga kabaka yalabye omutunuzi era omutukuvu ng'akka ng'ava mu ggulu, era ng'ayogera nti Temera ddala omuti, oguzikirize: era naye ekikonge ky'ekikolo kyagwo kirekere mu ttaka: nga kiriko ekyuma ekisiba n'ekikomo, mu muddo omugonvu ogw'omu nsiko: era kitobenga n'omusulo ogw'omu ggulu, n'omugabo gwe gubenga n'ensolo ez'omu nsiko: okutuusa ebiseera omusanvu lwe birimuyitako: