Daniel 4:25 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oligobebwa okuva mu bantu era olibeera n’ensolo ez’omu nsiko; olirya omuddo ng’ente, era olibisiwala okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu Ennyo y’afuga obwakabaka bw’abantu, era abugabira buli gw’asiima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko; olirya omuddo ng'ente, onosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, era onoosulanga bweru ogwibwengako omusulo, okutuusa lw'olitegeera nga Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde okubuwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'oligobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko, era oliriisibwa omuddo ng'ente, era olitoba omusulo ogw'omu ggulu, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.