Daniel 4:26 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiragiro eky’okuleka ekikonge ky’ekikolo ky’omuti, amakulu gaakyo ge gano: obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw’olitegeera ng’eggulu lye lifuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nga bwe balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nga bwe baalagidde okulekawo ekikolo n'emirandira gy'omuti, obwakabaka bwo bulikuddizibwa, bw'olimala okutegeera ng'Eggulu lye lifuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kubanga balagidde okuleka ekikonge ky'ekikolo ky'omuti: obwakabaka bwo bulinywera gy'oli bw'olimala okutegeera ng'eggulu lye lifuga.