Daniel 4:27 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo, ayi kabaka nteesa nti; weetoowaze olekeyo ebibi byo okole eby’obutuukirivu, era n’ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu obireke obeere wa kisa eri abanyigirizibwa, olyoke ofuuke mugagga okusinga nga bw’oli kaakano.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, Ayi kabaka, kkiriza amagezi genkuwa: lekerawo okukola ebibi, kola eby'obutuukirivu, era mu kifo ky'okwonoona, saasira abaavu, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale, ayi Ssaabasajja, kkiriza amagezi ge nkuwa: mu kifo ky'ebibi by'obadde okola, kola birungi; era mu kifo ky'okwonoona, kolera abali mu bwetaavu eby'ekisa, olwo mpozzi lw'oneeyongera okuba obulungi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ai kabaka, okuteesa kwange kukkirizibwe mu maaso go, era omalire ddala ebibi byo ng'okola eby'obutuukirivu, n'ebikolwa byo ebitali bya butuukirivu ng'osaasira abaavu, mpozzi okuwummula kwo kwongerweko.