Daniel 4:31 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yali ng’akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu nga ligamba nti, “Kuno kwe kulangirira okukukwatako Kabaka Nebukadduneeza: obwakabaka bwo bukuggyiddwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka yali nga akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti, “obubaka buno bubwo, Ggwe kabaka Nebukadduneeza, obwakabaka bukuggyiddwako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka yali akyayogera, eddoboozi ne liva mu ggulu, ne ligamba nti: “Obubaka buno bubwo, ggwe Kabaka Nebukadunezzari: obwakabaka bukuggyiddwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kyali nga kikyali mu kamwa ka kabaka, eddoboozi ne ligwa nga liva mu ggulu, nti Ggwe kabaka Nebukadduneeza, kyogerwa eri ggwe: obwakabaka bukuvuddeko.