Daniel 4:32 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oligobebwa mu bantu era olibeera n’ensolo okumala emyaka musanvu okutuusa lw’olitegeera ng’Oyo Ali Waggulu ennyo y’afuga obwakabaka obw’abantu era abuwa buli gw’asiima.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko. onoolya omuddo ng'ente, okumala emyaka musanvu, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye y'afuga obwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ojja kugobebwa ove mu bantu, obeerenga wamu n'ebisolo eby'omu ttale. Ojja kumala emyaka musanvu ng'olya muddo ng'ente, okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Atenkanika ye alina obuyinza ku bwakabaka bw'abantu, era ng'abuwa gw'aba ayagadde.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era onoogobebwa okuva mu bantu, era olibeera wamu n'ensolo ez'omu nsiko: era oliriisibwa omuddo ng'ente, era ebiseera omusanvu birikuyitako: okutuusa lw'olitegeera ng'Oyo Ali waggulu ennyo ye afugira mu bwakabaka bw'abantu, era abuwa buli gw'ayagala.