Daniel 4:33 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago ebyayogerwa ku Nebukadduneeza ne bituukirira. N’agobebwa mu bantu era n’alya omuddo ng’ente. Omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw’omu ggulu okutuusa enviiri ze lwe zaakula ng’ebyoya by’empungu n’enjala ze ng’enjala z’ennyonyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amangwago ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu. Enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinnyonyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kaseera ako kennyini, ebigambo ebyo ne bituukirira ku Nebukadunezzari. N'agobebwa n'ava mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, omusulo ne gugwa ku mubiri gwe, enviiri ze ne zikula okwenkana ebyoya by'empungu, n'enjala ze ne ziwanvuwa ng'ez'ebinyonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu ssaawa eyo ekigambo ne kituukiririra Nebukadduneeza: n'agobebwa okuva mu bantu, n'alya omuddo ng'ente, n'omubiri gwe ne gutoba omusulo ogw'omu ggulu, okutuusa enviiri ze lwe zaakula nga ebyoya by'empungu, n'enjala ze nga enjala z'ennyonyi.