Daniel 4:34 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebbanga eryo, nze, Nebukadduneeza, ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne gakomawo. Ne ntendereza Oyo Ali Waggulu Ennyo, ne muwa ekitiibwa ne mugulumiza oyo abeera omulamu emirembe n’emirembe. Okufuga kwe tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera ekyo bwe kyaggwaako, nze Nebukadunezzari ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, ne nziramu okutegeera, ne neebaza Oyo Atenkanika, ne mmutendereza, ne mmuwa ekitiibwa, Oyo Omulamu emirembe gyonna: kubanga obufuzi bwe bwa lubeerera, n'obwakabaka bwe bwa mirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ennaku ezo bwe zaggwa nze Nebukadduneeza ne nnyimusa amaaso gange eri eggulu, amagezi gange ne ganziramu, ne nneebaza Oyo Ali waggulu ennyo, ne mmutendereza ne mmuwa ekitiibwa oyo abeera omulamu emirembe n'emirembe, kubanga okufuga kwe kwe kufuga okutaliggwaawo, n'obwakabaka bwe bwa mirembe na mirembe: