Daniel 4:35 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bonna ab’oku nsi abalaba nga si kintu, eggye ery’omu ggulu n’abantu ab’oku nsi abayisa nga bw’asiima. Tewali ayinza okumuziyiza, newaakubadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bonna ab'oku nsi abalowooza nga si kintu, era akola nga bw'ayagala mu ggye er'yomu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi. Tewali ayinza okuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti, “Okola ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatuuze b'oku nsi bonna, ababala ng'abataliiwo. Era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, ne mu batuuze b'oku nsi. Tewali ayinza kuziyiza ky'ayagala okukola, wadde okumubuuza nti: ‘Okola ki?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abo bonna abatuula mu nsi abalowooza nga si kintu: era akola nga bw'ayagala mu ggye ery'omu ggulu, era ne mu abo abatuula mu nsi: so siwali ayinza okuziyiza omukono gwe, newakubadde okumugamba nti Okola ki?