Daniel 4:37 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza, mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'Eggulu: kubanga buli ky'akola ge mazima, na buli ky'asalawo kye kituufu, era atoowaza ab'amalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano nze Nebukadunezzari ntendereza, ngulumiza, era nzisaamu ekitiibwa Katonda w'Eggulu, kubanga buli ky'akola kituufu, na buli ky'asalawo kya bwenkanya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nze Nebukadduneeza mmutendereza era mmugulumiza era mmuwa ekitiibwa Kabaka w'eggulu: kubanga emirimu gye gyonna mazima, n'amakubo ge ga nsonga: n'abo abatambulira mu malala ayinza okubajeeza.