Daniel 4:7 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalogo, n’abafumu, n’Abakaludaaya, n’abalaguzi ne bajja, ne mbategeeza ekirooto, naye ne balemwa okuntegeeza amakulu gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bajja gye ndi abasawo, abafumu, n'abalogo, n'abalaguzi, Ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batayinza kuntegeeza makulu gaakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abalaguzi, n'abafuusa, n'abeetegereza eby'emmunyeenye, n'abalogo, ne bajja ne mbalootololera ekirooto kyange, naye ne batantegeeza makulu gaakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bayingira abasawo, n'abafumu, n'Abakaludaaya, n'abalaguzi: ne njatulira ekirooto mu maaso gaabwe: naye ne batantegeeza makulu gaakyo.