Daniel 4:8 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluvannyuma Danyeri n'ajja gye ndi, erinnya lye eddala ye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, omwoyo gwa bakatonda abatukuvu gwali mu ye, kale ne mmulootolera ekirooto kyange bwe nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oluvannyuma Daniyeli n'ajja gyendi. Daniyeli oyo, erinnya lye eddala ye Belutesazzari, nga lubaale wange bw'ayitibwa, era mwoyo wa balubaale abatukuvu amulimu. Kale ne mmulootololera ekirooto nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oluvannyuma Danyeri n'ayingira gye ndi, erinnya lye Berutesazza, ng'erinnya lya katonda wange bwe liri, era omuli omwoyo gwa bakatonda abatukuvu; ne njatulira ekirooto mu maaso ge nti