Daniel 4:9 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikulema, kale mbuulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange, n'amakulu gaakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Ggwe Belutesazzari, omukulu w'abalaguzi, mmanyi nga mwoyo wa balubaale abatukuvu akulimu, era nga tewali kyama kikulema. Kale mbuulira bye nalaba mu kirooto kyange, era ontegeeze n'amakulu g'ekirooto ekyo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe Berutesazza, omukulu w'abasawo, kubanga mmanyi ng'omwoyo gwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so nga tewali kyama ekikweraliikiriza, mbuulira bye nnayolesebwa mu kirooto kyange kye ndabye, n'amakulu gaakyo.